Amos 9

Okuzikirira kwa Isirayiri

1 aBwe ntyo nate ne ndaba Mukama ng’ayimiridde ku mabbali g’ekyoto, n’ayogera nti,

“Mukube emitwe gy’empagi bya yeekaalu n’amaanyi mangi,
emifuubeeto gikankane.
Bisesebbuke bikube emitwe gy’abantu bonna,
n’abo abaliba bawonyeewo ndibattisa ekitala.
Tewaliba n’omu awona.
2 bNe bwe balisima ne baddukira emagombe,
omukono gwange gulibaggyayo.
Ne bwe balirinnya waggulu mu ggulu
ndibawanulayo.
3 cWadde balyekweka ku lusozi Kalumeeri,
ndibanoonyaayo ne mbaggyayo.
Ne bwe balyekweka wansi mu buziba bw’ennyanja
ndiragira ogusota ne gubalumirayo.
4 dNe bwe balitwalibwa abalabe baabwe mu buwaŋŋanguse,
era nayo ndiragira ekitala ne kibattirayo.
Ndibasimba amaaso
ne batuukibwako bibi so si birungi.”

5 eEra Mukama, Mukama ow’Eggye,
akwata ku nsi n’esaanuuka,
abantu baayo bonna abagibeeramu ne bakungubaga,
ensi yonna n’etumbiira nga Kiyira
ate n’ekka ng’amazzi g’omugga gw’e Misiri;
6 foyo eyazimba olubiri lwe olulungi ennyo mu ggulu,
omusingi gwalwo ne gubeera ku nsi,
ayita amazzi g’ennyanja,
n’agayiwa wansi ku lukalu,
Mukama lye linnya lye.

7 g Mukama ayongera n’agamba nti,
“Mmwe abaana ba Isirayiri temuli ng’Abakuusi gye ndi?
Ssabaggya mu nsi y’e Misiri
nga bwe naggya Abafirisuuti e Katufoli,
n’Abasuuli e Kiri?”

Essuubi lya Isirayiri

8 h“Ddala ddala amaaso ga Mukama Katonda,
gatunuulidde nkaliriza obwakabaka obwonoonyi.
Ndibuzikiriza ne mbusaasaanya
okuva ku nsi.
Kyokka sirizikiririza ddala
ennyumba ya Yakobo okugimalawo,”
bw’ayogera Mukama.
9 i“Kubanga ndiwa ekiragiro,
ennyumba ya Isirayiri erinyeenyezebwa
mu mawanga gonna,
ng’emmere ey’empeke bwe kuŋŋutibwa mu kakuŋŋunta
era tewaliba kayinja akaligwa wansi.
10 jAboonoonyi bonna mu bantu bange,
balifa kitala,
abo bonna aboogera nti,
‘Akabi tekalitutuukako.’ ”

Isirayiri edda obuggya

11 k“Mu biro ebyo ndizzaawo
ennyumba ya Dawudi eyagwa
era ndiddaabiriza ebifo ebyamenyebwamenyebwa,
ne nzizaawo ebyali amatongo,
ne biba nga bwe byabeeranga,
12 lbalyoke batwale ekitundu kya Edomu ekyasigalawo
n’amawanga gonna ge nayita okuba abantu bange,”
bw’ayogera Mukama alikola ebintu ebyo byonna.
13 m“Ennaku zijja,” bw’ayogera Mukama,

“akungula lw’alisinga asiga,
n’asiga ensigo lw’alisinga atunda emizabbibu.
Wayini omuggya alitonnya okuva mu nsozi,
n’akulukuta okuva mu busozi.
14 nNdikomyawo abantu bange Isirayiri okuva mu buwaŋŋanguse,
ne bazimba nate ebibuga ebyamenyebwa, babibeeremu.
Balisimba ennimiro zaabwe ez’emizabbibu ne banywa wayini avaamu,
era balisimba ennimiro balye ebibala byamu.
15 oNdisimba Isirayiri mu nsi yaabwe,
era tebaliggibwa nate
mu nsi gye nabawa,”
bw’ayogera Mukama Katonda wammwe.

Copyright information for LugEEEE